Ezekiel 7:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bafuuye ekkondeere, bategese byonna, naye tewali agenda ku lutalo, kubanga obusungu bwange buli ku kibiina kyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ne bwe balifuuwa ekkondeere ne bateekateeka buli kimu, tewaliba n’omu aligenda mu lutalo, kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bafuuye ekkondeere ne bateekateeka buli kimu, naye tewali agenda mu lutalo: kubanga obusungu bwange buli ku kibiina kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bafuuye eŋŋombe bonna okwetegeka, naye tewali agenda mu lutalo, kubanga Mukama abasunguwalidde bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bafuuye ekkondeere bategese byonna; naye tewali agenda mu lutalo: kubanga obusungu bwange buli ku lufulube lwabwe lwonna.