Ezekiel 7:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebweru kitala, ate munda kawumpuli na njala; abali mu byalo balifa kitala, abali mu kibuga kawumpuli n'enjala biribakavvula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebweru waliyo ekitala ne munda waliyo kawumpuli n’enjala. Abali ku ttale balifa kitala, abali mu kibuga balimalibwawo kawumpuli n’enjala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitala kiri ebweru, kawumpuli n'enjala biri munda: ali mu nnimiro alifa n'ekitala; n'oyo ali mu kibuga enjala ne kawumpuli birimumalawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo okuttiŋŋana ebweru, n'abali munda bafa endwadde n'enjala. Ali mu ttale alittibwa enjala n'endwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitala kiri bweru, ne kawumpuli n'enjala biri munda: ali mu nnimiro alifa n'ekitala; n'oyo ali mu kibuga enjala ne kawumpuli birimulya.