Ezekiel 7:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakaawonawo abaliba basumattuse, balibeera mu nsozi nga basindogoma ng'amayiba g'omu biwonvu, buli omu olw'ebibi bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abo abaliwonawo baliddukira mu nsozi, nga bakaaba nga bukaamukuukulu obw’omu biwonvu, buli omu olw’ebibi bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abo abaliwonawo ne baddukira ku nsozi, baliba nga bukaamukuukulu obw'omu biwonvu, bonna nga bawuubaala, buli omu nga anakuwala olw'obutali butuukirivu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye n'abo abaliwonawo ne baddukira ku nsozi, baliba nga bukaamukuukulu obutidde mu biwonvu ne buddukayo. Bonna balinakuwala, buli omu ng'anyolwa olw'ebibi bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abo abaliwonawo ku bo baliwona, era baliba ku nsozi nga bukaamukuukulu obw'omu biwonvu, bonna nga bawuubaala, buli muntu mu butali butuukirivu bwe.