Ezekiel 7:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffeeza waabwe balimukasuka mu nguudo, zaabu aliba afuuse ekintu ekijama. Ffeeza ne zaabu waabwe tebirisobola kubawonya ku lunaku lw'obusungu bw'Omukama. Tebiribawonya njala era tebalijjuza mbuto zaabwe nabyo, kubanga bye byali ekyesittazo ekyabaleetera okwonoona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubalokola ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe. Era tebalikkuta newaakubadde okukkusibwa. Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ng'ekintu ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubawonya ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama; tebalikkuta newakubadde okukkusibwa: kubanga ebyo bye byabaleetera okugwa mu bibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balisuula ffeeza waabwe mu nguudo, beggyeko ne zaabu waabwe ng'ekitagasa, kubanga zaabu ne ffeeza tebiriyinza kubawonya, ku lunaku Mukama lw'aliragirako obusungu bwe. Ensimbi zaabwe tebalizikozesa kwekkusa na kumatira, kubanga ze zaabaviirako okugwa mu bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ng'ekintu ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubawonya ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama; tebalyekkusa mmeeme zaabwe, so tebalyejjuza mbuto zaabwe: kubanga ebyo bye byabanga enkonge ey'obutali butuukirivu bwabwe.