Ezekiel 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, Omukama Katonda kino ky'agamba ensi ya Yisirayeli: Enkomerero! Enkomerero etuukiridde ensonda ennya ez'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti: “ ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse ku nsonda ennya ez’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ggwe omwana w'omuntu, bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensi ya Isiraeri nti Enkomerero: enkomerero yennyini etuuse ku nsonda ennya ez'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, Mukama Katonda agamba ensi ya Yisirayeli nti: enkomerero etuuse ku nsi eno yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensi ya Isiraeri nti Enkomerero: enkonerero yennyini etuuse ku nsonda ennya ez'ensi.