Ezekiel 7:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beetenderanga mu mayinja gaabwe ag'omuwendo ag'ettendo; baageeyambanga okukola ebifaananyi byabwe ebyenyinyalwa n'ebibumbe byabwe omutali nsa. N'olw'ekyo nzija kugabafuuliramu ekintu ekitali kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala, era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo n’ebintu ebirala eby’ekivve, era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu byabwe eby'omuwendo byabaleetera amalala era ekyavaamu kwe kukola ebifaananyi eby'ekivve, era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gyebali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yazibawa bakolemu ebintu ebiyonjo ebyekitiibwa, naye bo baakolamu bifaananyi ebitasaana, na bintu byabwe ebyenyinyalwa. Mukama kyavudde aleka zibafuukire ekintu ekitali kirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obulungi obw'obuyonjo bwe yabusimba mu bukulu: naye ne bakolera ebifaananyi eby'emizizo gyabwe n'ebintu byabwe eby'ebivve omwo: kyenvudde mbufuula gye bali ng'ekintu ekitali kirongoofu.