Ezekiel 7:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndigawaayo ng'omunyago mu mikono gy'abagwira, ng'olwayo mu mikono gy'ababi mu nsi, bagajaajaamye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga n’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyago era balibyonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibiwaayo byonna mu mikono gya bannamawanga okuba omunyago, n'eri ababi ab'omu nsi omugabo gwabwe n'okubyonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndireka abagwira okunyaga ebyobugagga ebyo, n'abamenyi b'amateeka mu nsi eyo okubifuula omugabo gwabwe n'okubyonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibuwaayo mu mikono gya bannaggwanga okuba omunyago, n'eri ababi ab'omu nsi okuba eky'okugereka; era balibwonoona.