Ezekiel 7:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndyetunuulira eri, siribatunuulira nga bajaajaamya ekifo kyange ekitukuvu; abanyazi balikiyingiramu ne bakijaajaamya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira, era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo; n’abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira nga boonoona ekifo kyange ekitukuvu, era abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Siritunulanayo nga boonoona Ekifo kyange Ekitukuvu, era abanyazi baliyingiramu ne bakyonoona, ne bakifuula matongo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikyusa n'amaaso gange okugabaggyako, era bo balyonoona ekifo kyange eky'ekyama: era abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona.