Ezekiel 7:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndireeta eggwanga erisinga gonna obubi ne litwala amayumba gaabwe; ndikomya okwekuza kw'ab'amaanyi n'ebifo byabwe ebitukuvu bijja kujaajaamizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi, ne batwala ennyumba zaabwe, era ndikomya amalala gaabwe n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyendiva ndeeta bannamawanga abasinga obubi, ne batwala ennyumba zaabwe: era ndikomya amalala ag'ab'amaanyi; n'ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyendiva ndeeta abagwira abasinga obubi, ne beefunira amaka gammwe, era ndikomya okwekuza kw'abalwanyi bammwe ab'amaanyi, n'ebifo byammwe mwe musinziza biryonoonebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyendiva ndeeta bannaggwanga abasinga obubi, ne balya ennyumba zaabwe: era ndikomya amalala ag'ab'amaanyi; n'ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.