Ezekiel 7:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akabi kaliddirira akabi, n'olugambo luliddirirwa olugambo; balinoonya okulabikirwa okuva ew'omulanzi; okuyigiriza kwa bakabona ku tteeka kulibula, era kye kimu ne ku bibuuliriro by'abakadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akabi kalyeyongera ku kabi, ne ŋŋambo ne zeeyongera; balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi, naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akabi kalyeyongera ku kabi, ne ŋŋambo ziryeyongera; era balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi; ne kabona aliba takyalina mateeka gaayigiriza bantu, n'abakadde balibulwa amagezi ge bawa abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akabi kaliddirira akabi, n'eŋŋambo ne ziddirira eŋŋambo. Balisaba abalanzi okubamanyisa bye bafunidde mu kulabikirwa, naye kabona aliba takyalina mateeka g'ayigiriza bantu, n'abakadde balibulwa amagezi ge bawa abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Walijja akabi ku kabi, era waliwulirwa ebigambo ku bigambo; era balinoonya okwolesebwa eri nnabbi; naye amateeka galibula awali kabona, n'okuteesa awali abakadde.