Ezekiel 7:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka alikungubaga, n'omulangira alyebungululwa entiisa, n'emikono gy'abantu b'omu nsi girikankana. Ndibayisa ng'amakubo gaabwe bwe gali; ndibalamula ng'empisa zaabwe bwe ziri. Olwo balimanya nti nze Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka alikaaba, n’omulangira alijjula obuyinike, n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa. Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri, era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri. Balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka alikungubaga, n'omulangira alijjula obuyinike, n'emikono gy'abantu ab'omu nsi girikankana olw'entiisa. Ndibasalira omusango nga bwe bagusalidde abalala, kale balimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka alikungubaga, n'abakungu baliggwaamu essuubi. Abantu balikankana olw'okutya. Ndibabonereza okusinziira ku byonna bye baakola. Ndibasalira omusango nga bwe bagusalidde abalala. Olwo balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka aliwuubaala, n'omukungu alyambala obuyinike, n'emikono gy'abantu ab'omu nsi giryeraliikirira: ndibakola ng'ekkubo lyabwe bwe liri, era nga bwe basaanidde bwe ndibasalira omusango; kale balimanya nga nze Mukama.