Ezekiel 7:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sijja kukuttira ku liiso, sijja kukusaasira, wabula nzija kukuvunaana amakubo go n'ebikolwa byo ebyenyinyalwa ebiri mu ggwe. Olwo mulimanya nti nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa; naye ndibasasula ng’engeri zammwe, n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe. Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sirikusaasira wadde okukukwatirwa ekisa, naye ndibasasula ng'engeri zammwe, n'ebikolwa byammwe ebibi ebiri mu mmwe bwe biri: kale mulimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sirikusaasira wadde okukukwatirwa ekisa, naye ndikubonereza olw'ebyenyinyalwa byonna bye wakola, olyoke otegeere nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So n'eriiso lyange teririkusonyiwa so sirikwatibwa kisa: naye ndikuleetako amakubo go, n'emizizo gyo giriba mu ggwe wakati: kale mulimanya nga nze Mukama.