Ezekiel 7:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndi kumpi okukuteera obusungu bwange, nkumalireko obuswandi bwange; ndikulamula nga ngerera ku makubo go, ndikuvunaana ebyenyinyalwa byonna bye wakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaatera okubalaga obusungu bwange, n’ekiruyi kyange. Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri, ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano nnaatera okufukira ddala ekiruyi kyange ku ggwe, ne nkumalirako ekiruyi kyange, ne nkusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikusasula ng'eby'emizizo byonna bwe biri bye wakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kaakano nnaatera okukulaga obusungu bwange, nkumalireko ekiruyi kyange, nkusalire omusango okusinziira ku nneeyisa yo, era nkubonereze olw'ebyenyinyalwa byonna bye wakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano naatera okufukira ddala ekiruyi kyange ku ggwe, ne ntuukiriza obusungu bwange eri ggwe, ne nkusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna.