Ezekiel 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sijja kukutunuuliza kisa, sijja kukusaasira, wabula nzija kukuvunaana amakubo go n'ebikolwa byo ebyenyinyalwa ebiri mu ggwe; olwo mulimanya nti nze Mukama akuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa. Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe. Mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda, era mbonereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So sikusaasira wadde okukukwatirwa ekisa: ndibasasula ng'engeri zammwe, n'ebikolwa byammwe ebibi ebiri mu mmwe bwe biri; kale mulimanya nga nze Mukama nkuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sijja kukusaasira wadde okukukwatirwa ekisa. Nja kukubonereza olw'ebyenyinyalwa bye wakola. Kale mulimanya nga Nze Mukama, era nga Nze mbonereza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So n'eriiso lyange teririsonyiwa so sirikwatibwa kisa: ndikuleetako ng'amakubo go bwe gali, n'emizizo gyo giriba mu ggwe wakati; kale mulimanya nga nze Mukama nkuba.