Ezekiel 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo mu mwaka ogwomukaaga, mu mwezi ogwomukaaga ng'ennaku ttaano, nali ntudde mu nnyumba yange, nga n'abakadde mu Yuda bantudde awo mu maaso, omukono gw'Omukama Katonda ne gunzijako awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwaka ogw’omukaaga, mu mwezi ogw’omukaaga ku lunaku olwokutaano, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n’abakadde ba Yuda, nga batudde mu maaso gange omukono gwa Mukama Katonda ne gunzikako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omukaaga, mu mwezi ogw'omukaaga ku lunaku olw'okutaano olw'omwezi, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n'abakadde ba Yuda nga batudde mu maaso gange, omukono gwa Mukama Katonda ne gunzikirako eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokutaano olw'omwezi ogw'omukaaga mu mwaka ogw'omukaaga nga tuli mu buwaŋŋanguse, bwe nali nga ntudde mu nnyumba yange, era n'abakulembeze ba Buyudaaya nga batudde awo mu maaso gange, amaanyi ga Mukama Afugabyonna ne gajja ku nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omukaaga mu mwezi ogw'omukaaga ku lunaku oIw'okutaano olw'omwezi, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n'abakadde ba Yuda nga batudde mu maaso gange, omukono gwa Mukama Katonda ne gugwira eyo ku nze.