Ezekiel 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nnyingira, ne ndaba: ku kisenge okwetooloola wonna kwali kwoleddwako ebifaananyi bya buli kika kya byewalula n'ebisolo ebyenyinyalwa n'ebifaananyi bya balubaale byonna eby'ennyumba ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nnyingira ne ndaba, era ku bisenge ne ndabako ebyekulula ebya buli kika kyonna, n’ensolo ez’emizizo ne bakatonda abalala bonna ab’ennyumba ya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nnyingira ne ndaba; era, laba, buli ngeri ey'ebyewalula n'ensolo ez'emizizo n'ebifaananyi byonna eby'ennyumba ya Isiraeri nga bitoneddwa ku bisenge enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nnyingira, ne ndaba ng'ebisenge eby'enjuyi zonna byali bitoneddwako ebifaananyi by'ebyewalula ebya buli ngeri, n'eby'ensolo ezitali nnongoofu, n'eby'ebintu ebirala Abayisirayeli bye basinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nnyingira ne ndaba; era, laba, buli ngeri ey'ebyewalula n'ensolo ez'emizizo n'ebifaananyi byonna eby'ennyumba ya Isiraeri nga bitoneddwa ku kisenge enjuyi zonna.