Ezekiel 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu maaso gaabyo nga wayimiriddeyo abakadde nsanvu ab'omu nnyumba ya Yisirayeli ne Yaazaniya mutabani wa Safani yali ayimiridde mu makkati gaabwe, buli omu yali alina ekyoterezo mu mukono gwe, nga muttunka ekire ky'omukka oguwunya akawoowo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakadde nsanvu ab’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, ne Yaazaniya mutabani wa Safani, ng’ayimiridde wakati mu bo. Buli omu ku bo yali akute ekyoterezo mu mukono gwe, ng’ekire eky’akaloosa ak’obubaane kinyooka okuva mu byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nga wayimiridde mu maaso gaabyo abasajja nsanvu (70) ku bakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri, ne wakati mu bo nga muyimiridde Yaazaniya mutabani wa Safani, buli muntu ng'akutte ekyoterezo kye mu mukono gwe; omukka gw'ebyoterezo ebyo nga gunyooka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu maaso gaabyo, waali wayimiriddewo abasajja nsanvu, abamu ku bakulembeze b'Eggwanga lya Yisirayeli, omwali ne Yaazaniya mutabani wa Safani. Buli omu yali akutte ekyoterezo ky'obubaane, omukka gw'ebyoterezo ebyo nga gunyooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nga wayimiridde mu maaso gaabyo abasajja nsanvu ku bakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri, ne wakati mu bo nga muyimiridde Yaazaniya mutabani wa Safani, buli muntu ng'akutte ekyoterezo kye mu mukono gwe; akaloosa ak'ekire eky'obubaane ne kanyooka.