Ezekiel 8:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, olabye abakadde b'ennyumba ya Yisirayeli kye bakola mu nzikiza, buli omu mu ssabo ly'ekifaananyi kye ekya lubaale? Kubanga bagamba nti: ‘Omukama tatulaba; Omukama ensi yagyabulira.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olabye abakadde b’ennyumba ya Isirayiri bye bakola mu nzikiza, buli omu ng’ali mu ssabo lya katonda we? Bagamba nti, ‘ Mukama tatulaba, era Mukama yeerabira ensi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, olabye abakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri kye bakolera mu kizikiza, buli muntu mu kisenge omuli ebifaananyi by'asinza? Kubanga bagamba nti, ‘Mukama tatulaba, era Mukama yaleka ensi.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, olabye abakulembeze b'Eggwanga lya Yisirayeli kye bakolera mu nkukutu, buli omu mu kisenge omuli ebifaananyi by'asinza? Kubanga bagamba nti, ‘Mukama tatulaba. Mukama yayabulira ensi.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, olabye abakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri kye bakolera mu kizikiza, buli muntu mu bisenge bye ebirimu ebifaananyi? kubanga boogera nti Mukama tatulaba; Mukama yaleka ensi.