Ezekiel 8:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba era nti: “Ojja kulaba n'ebyenyinyalwa ebisingawo obunene bye bakola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addamu n’aŋŋamba nti, “Oliraba ebintu eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'aŋŋamba nti, “Era onoolaba nate n'emizizo emirala emikulu gye bakola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama era n'aŋŋamba nti: “Ojja kulaba n'ebyenyinyalwa ebirala bye bakola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'aŋŋamba nti Era onoolaba nate n'emizizo emirala emikulu gye bakola.