Ezekiel 8:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'antwala ku muzigo gw'omulyango gw'emambuka ogw'Ekiggwa ky'Omukama; abakazi baali batudde eyo nga bakaabira Tammuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggi olw’Obukiikakkono ogw’ennyumba ya Mukama, ne ndaba abakazi abatudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'andeeta eri oluggi olw'omulyango ogw'ennyumba ya Mukama ogw'obukiikakkono, ne ndaba abakazi nga batudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'antwala ku mulyango gw'Essinzizo ogw'obukiikakkono, ng'eriyo abakazi abakaabira Lubaale Tammuzi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'andeeta eri oluggi olw'omulyango ogw'ennyumba ya Mukama ogwayolekera obukiika obwa kkono; awo, laba, abakazi nga batudde eyo nga bakaabira Tammuzi.