Ezekiel 8:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, kino okirabye? Ojja kulaba ebyenyinyalwa ebinene n'okusinga ku bino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Oliraba eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “Olabye, omwana w'omuntu? era onoolaba eby'emizizo ebisinga ne ku ebyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'ambuuza nti: “Obirabye ebyo, ggwe omuntu? Era nno ojja kwongera okulaba ebyenyinyalwa ebisinga ne ku ebyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Olabye, omwana w'omuntu? era onoolaba nate emizizo egisinga gino obukulu.