Ezekiel 8:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'annyingiza mu luggya lw'ennyumba y'Omukama olw'omunda; awo mu mulyango gw'Ekiggwa ky'Omukama, wakati w'ekisasi n'omwaliiro, waaliwo abasajja ng'amakumi abiri mu bataano, omugongo nga bagukubye eri Ekiggwa ky'Omukama, batunuulidde ebuvanjuba; baali bavunnamira enjuba ebuvanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya Mukama, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya Mukama wakati w’ekisasi n’ekyoto, nga waliwo abasajja ng’amakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya Mukama, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'andeeta mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama, kale, laba, ku luggi olwa Yeekaalu ya Mukama wakati w'ekisasi n'ekyoto nga waliwo abasajja ng'abiri mu bataano (25), abakubye enkoona Yeekaalu ya Mukama n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ebuvanjuba; era nga basinza enjuba nga batunuulira ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo n'antwala mu luggya olwomunda olw'Essinzizo lya Mukama. Eyo okumpi n'omulyango gw'Ekifo Ekitukuvu, wakati w'ekisasi ne alutaari, waaliwo abasajja ng'amakumi abiri mu bataano. Baali bakubye amabega Ekifo Ekitukuvu, nga batunudde ebuvanjuba, era nga basinza enjuba evaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'andeeta mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama, kale, laba, ku luggi olwa yeekaalu ya Mukama wakati w'ekisasi n'ekyoto nga waliwo abasajja ng'amakumi abiri mu bataano, abakubye enkoona yeekaalu ya Mukama n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ebuvanjuba; era nga basinza enjuba nga batunuulira ebuvanjuba.