Ezekiel 8:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, okirabye ekyo? Kintu kya lusaago eri ennyumba ya Yuda okukola ebyenyinyalwa bino bye bakola wano? Lwaki ensi bandigijjuzizza ebikolwa eby'obukambwe ne batata kunnyiiza? Laba baabo ettabi baliteeka ku nnyindo zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu eby’ekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi n’ebikolwa eby’obukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana w'omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola eby'emizizo gye bakolera wano? Naye bongerako n'okujjuza ensi ebikolwa eby'obukambwe ne bongera n'okunsunguwaza: era, laba, bwe banvuma mu ngeri esingira ddala okuba ey'obujoozi!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Obirabye ebyo, ggwe omuntu? Abantu b'omu Buyudaaya tekibamala okukola ebyenyinyalwa ebyo byonna by'olabye wano, naye bongerako n'okujjuza ebikolwa eby'obukambwe mu nsi yaabwe, ne bansosonkereza okusunguwala. Laba bwe banvuma mu ngeri esingira ddala okuba ey'obujoozi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Olabye, omwana w'omuntu? kigambo kyangu eri ennyumba ya Yuda nga bakola emizizo gye bakolera wano? kubanga bajjuzizza ensi ekyejo, era bakyuse nate okunsunguwaza: era, laba, basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe.