Ezekiel 8:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe natunula, ne ndaba ekintu ekifaanana ng'omuntu: okuva ku kyali ng'ekiwato okukka yali ng'omuliro, ate okuva awo okwambuka, endabika ye ng'eyakaayakana ng'ekyuma ekyengeredde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe natunula ne ndaba ekifaananyi ky’omuntu, okuva mu kiwato kye okukka wansi ngali ng’omuliro, n’okuva mu kiwato kye okwambuka ng’ayakaayakana ng’ekyuma ekyaka omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe n'atunula ne ndaba ekifaananyi ky'omuntu, nga okuva mu kiwato kye okukka wansi ng'ali ng'omuliro, n'okuva mu kiwato kye okwambuka, ng'amasamasa ng'ekikomo ekizigule.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe natunula, ne ndaba ekyanfaananira ng'omuntu ayakaayakana ng'omuliro. Okuva ku kiwato kye okukka wansi, yali afaanana ng'omuliro. N'okuva ku kiwato kye okwambuka, yali amasamasa ng'ekikomo ekizigule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ntunula, era, laba, ekifaananyi ekyali ng'embala ey'omuliro; okuva ku mbala ey'ekiwato kye ne wansi, muliro: n'okuva ku kiwato kye n'okwambuka, ng'embala ey'okumasamasa, ng'ebbala lya zaabu etabuddwamu effeeza.