Ezekiel 8:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yagolola ekyali ng'omukono n'ansitulira ku mivumbo gy'enviiri z'omutwe gwange. Omwoyo ne gunsitula, ne nnengejjera wakati w'ensi n'eggulu, mu kulabikirwa kwa Katonda, n'antwala mu Yeruzaalemu ku muzigo gw'omulyango ogw'emambuka ogw'omu luggya olw'omunda awaali wateekeddwa ekifaananyi kya lubaale eky'obuggya, ekyasiikuula obuggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'agolola ekyali ng'omukono n'ankwata ku muvumbo gw'enviiri ez'oku mutwe gwange; Omwoyo n'ansitula wakati w'ensi n'eggulu n'antwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa kwa Katonda, eri oluggi olw'omulyango ogw'oluggya olw'omunda, ogutunuulira obukiikakkono, awali entebe ey'ekifaananyi ekinyiiza ennyo Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agolola ekyandabikira ng'omukono, n'ankwata omuvumbo gw'enviiri. Mu kulabikirwa kuno, Mwoyo wa Katonda n'ansitula waggulu mu bbanga, n'antwala e Yerusaalemu, ku luggi olw'omulyango gw'oluggya lw'Essinzizo olwomunda olw'ebukiikakkono, awaali ekifaananyi ekinyiiza ennyo Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agolola ekyali ng'omukono n'ankwata ku muvumbo gw'enviiri ez'oku mutwe gwange; omwoyo ne gunsitula wakati w'ensi n'eggulu ne guntwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa kwa Katonda, eri oluggi olw'omulyango ogw'oluggya olw'omunda, ogutunuulira obukiika obwa kkono; awali entebe ey'ekifaananyi eky'obuggya ekireeta obuggya.