Ezekiel 8:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, situlira amaaso go eri emambuka.” Ne nsitulira amaaso gange eri emambuka; bwe natunula, ne ndaba mu mulyango emambuka w'omwaliiro nga waliyo ekifaananyi kya lubaale eky'obuggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso eri Obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba mu mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggi lw’ekyoto ne ndaba ekifaananyi eky’obuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, yimusa amaaso go kaakano eri ekkubo erigenda obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange eri ekkubo erigenda obukiikakkono, ne ndabayo ekifaananyi ekinyiiza ennyo Katonda nga kiri mu mulyango ku luuyi olw'obukiikakkono olw'omulyango ogw'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, yimusa amaaso go, otunule ebukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula ebukiikakkono, ne ndabayo ekifaananyi ekinyiiza ennyo Katonda. Kyali ku mulyango ogw'ebukiikakkono, okumpi ne alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, yimusa amaaso go kaakano eri ekkubo erigenda obukiika obwa kkono. Awo ne nnyimusa amaaso gange eri ekkubo erigenda obukiika obwa kkono, kale, laba, ekifaananyi kino eky'obuggya nga kiri mu mulyango ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'omulyango ogw'ekyoto.