Ezekiel 8:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti “Mwana w'omuntu, kye bakola okiraba, ebyenyinyalwa ebinene ennyumba ya Yisirayeli by'ekola wano, bangobere ewala okuva mu kitukuvu kyange? Ojja kulaba ebyenyinyalwa ebisingawo n'obunene.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olaba kye bakola, ebigambo eby’ekivve ennyumba ya Isirayiri byekolera wano, nga bangobera wala n’ekifo kyange ekitukuvu? Naye oliraba ebintu eby’ekivve ebisingawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, olaba kye bakola? Olaba eby'emizizo byonna ennyumba ya Isiraeri by'ekolera wano, ebindeteera okwesamba wala awatukuvu wange? Naye onoolaba nate n'emizizo emirala egisingawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, olaba kye bakola? Olaba ebyenyinyalwa ebyenkanidde awo, Abayisirayeli bye bakolera wano, ebindeetera okwesamba mbeere wala n'ekifo kyange ekitukuvu? Naye ojja kulaba n'ebyenyinyalwa ebirala ebisingawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, olaba kye bakola? olaba emizizo emikulu ennyumba ya Isiraeri gye bakolera wano, ndyoke nneesambe wala awatukuvu wange? naye onoolaba nate n'emizizo emirala emikulu.