Ezekiel 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'antwala mu mulyango gw'oluggya, bwe natunula, ne ndaba ekituli mu kisenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggya. Ne ndaba ekituli mu bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'andeeta ku luggi olw'oluggya; awo bwe nnatunula, laba, ekituli nga kiri mu bbugwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'antwala ku mulyango gw'oluggya olw'ebweru. Bwe natunula, ne ndaba ekituli ekikubiddwa mu kisenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'andeeta ku luggi olw'oluggya; awo bwe nnatunula, laba, ekituli nga kiri mu kisenge.