Ezekiel 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aleekaana n'eddoboozi eddene mu matu gange ng'agamba nti: “Mmwe ab'okubonereza ekibuga, musembere, buli omu n'ekissi mu mukono gwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne mpulira ng’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Muleete abakuumi b’ekibuga wano, buli omu n’ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu matu gange nti, “Sembeza abo abakulira ekibuga, buli muntu ng'akutte eky'okulwanyisa kye ekizikiriza mu mukono gwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mpulira nga Mukama ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Mujje mmwe abagenda okubonereza ekibuga. Buli omu ajje ng'akutte mu mukono gwe ekyokulwanyisa kye nnamuzisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu matu gange ng'ayogera nti Sembeza abo abakulira ekibuga, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye ekizikiriza mu mukono gwe.