Ezekiel 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno nange sijja kubatunuuliza kisa, sijja kubasaasira, wabula nzija kussa ku mitwe gyabwe byonna bye baakola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyendiva nema okubatunuulira n’eriiso erisaasira newaakubadde okubalaga ekisa, naye ndileeta akabi ku mitwe gyabwe olw’ebikolwa byabwe ebibi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwentyo nange ssiribatunuulira n'eriiso erisaasira, wadde okubalaga ekisa, naye ndibabonereza olw'ebikolwa byabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntyo nno nange sijja kubasonyiwa, wadde okubakwatirwa ekisa. Nja kuwoolera eggwanga ku bo olw'ebyo bye bakoze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nange eriiso lyange teririsonyiwa so sirisaasira, naye ndireeta ekkubo lyabwe ku mutwe gwabwe.