Ezekiel 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omusajja eyali ayambadde engoye eza kitaani, eyalina mu kiwato akakopo ka bwino, n'azza obubaka, n'agamba nti: “Nkoze nga bwe wandagidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu n’akomyawo obubaka eri Mukama nti, “Nkoze nga bwe walagidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja ayambadde bafuta nga yeesibye ekikompe ekya bwino mu kiwato n'azza ebigambo n'agamba nti, “Nkoze nga bw'ondagidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja ayambadde ebyambalo ebyeru, alina ku lusegere lwe eccupa erimu bwino ow'okuwandiisa, n'akomawo, n'azza obubaka, n'agamba nti: “Nkoze nga bw'ondagidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, omusajja ayambadde bafuta eyalina ekikompe ekya bwino mu kiwato n'azza ebigambo ng'ayogera nti Nkoze nga bw'ondagidde.