Ezekiel 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne wabaawo abasajja mukaaga, ne bajja nga bava ku ludda olw'omulyango ogw'engulu ogutunuulidde emambuka, buli omu n'ekissi mu mukono gwe. Baalimu omusajja ng'ayambadde engoye eza kitaani, ng'alina mu kiwato akakopo ka bwino, ne bayingira, ne bayimirira kumpi n'omwaliiro ogw'ekikomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba abasajja mukaaga nga bava ku luuyi olw’omulyango ogw’engulu, ogutunudde mu bukiikakkono, buli omu ng’akutte ekissi mu ngalo ze; nga ku bo kuliko omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g’ekyoto eky’ekikomo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, abasajja mukaaga ne bajja nga bayita mu mulyango ogw'engulu ogutunudde e bukiikakkono, buli muntu ng'akutte mu mukono gwe ekissi, nga kubo kuliko omusajja wakati mu bo ayambadde ekyambalo kya bafuta, ng'alina ekikompe kya bwino mu kiwato ow'okuwandiisa. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g'ekyoto eky'ekikomo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago abasajja mukaaga ne bayita mu mulyango gw'Essinzizo ogw'engulu, ogutunudde ebukiikakkono, ne bajja nga buli omu akutte ekissi. Mu bo mwajjiramu omusajja ayambadde ebyambalo ebyeru, ng'alina ku lusegere lwe eccupa erimu bwino ow'okuwandiisa. Ne bayingira, ne bayimirira ku mabbali ga alutaari ey'ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, abasajja mukaaga ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu ogwolekera obukiika obwa kkono, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye ekitta mu mukono gwe; n'omusajja omu wakati mu bo ayambadde bafuta ng'alina ekikompe kya bwino eky'omuwandiisi mu kiwato. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g'ekyoto eky'ekikomo.