Ezekiel 9:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli ne kisituka nga kiva waggulu ku bakerubi kwe kyali ne kigenda ku mulyango gw'Ekiggwa; Omukama n'ayita omusajja eyali ayambadde engoye eza kitaani ng'alina mu kiwato akakopo ka bwino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri ne kiva mu bakerubi mwe kyali, ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu. Mukama n’ayita omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali kirinnye okuva ku kerubi kwe kyali, nga kizze ku mulyango ogw'ennyumba. Mukama n'ayita omusajja ayambadde bafuta eyali yeesibye ekikompe kya bwino mu kiwato ow'okuwandiisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitangaala ekimasamasa ekiraga ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli ne ndaba nga kyali kivudde waggulu ku bakerubi kwe kyali, ne kidda ku mulyango gw'Essinzizo. Mukama n'ayita omusajja ayambadde ebyambalo ebyeru, eyalina ku lusegere lwe eccupa ya bwino ow'okuwandiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali kirinnye okuva ku kerubi kwe kyali okutuuka ku mulyango ogw'ennyumba: n'ayita omusajja ayambadde bafuta eyalina ekikompe kya bwino eky'omuwandiisi mu kiwato.