Ezekiel 9:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Yita wonna mu kibuga kya Yeruzaalemu, ogende ng'olamba akabonero ku byenyi by'abantu abasinda n'abanakuwadde olw'ebyenyinyalwa byonna ebikolerwamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amugamba nti, “Genda ng’oyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abeesisiwadde era abanakuwadde olw’ebintu byonna eby’ekivve ebikolebwa wakati mu kyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'amugamba nti, “ Genda oyiteeyite mu kibuga Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by'abantu abanakuwadde era abakaaba olw'eby'emizizo byonna ebikolebwa mu kyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amugamba nti: “Genda oyiteeyite mu kibuga Yerusaalemu, oteeke akabonero ku byenyi by'abantu abanakuwadde era abakaaba olw'ebyenyinyalwa ebikolerwa mu kyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'amugamba nti Genda oyite wakati mu kibuga, wakati mu Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by'abantu abassa ebikkowe era abakaabira emizizo gyonna egikolerwa wakati mu kyo.