Ezekiel 9:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ne mpulira ng'agamba abalala nti “Muyiteeyite mu kibuga nga mumugoberera, nga mugenda mutta awatali kutunuuliza kisa oba kusaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalala n’abagamba, nga mpuliriza nti, “Mumugoberere muyiteeyite mu kibuga mutte, nga temusaasira newaakubadde okulaga ekisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abalala n'abagamba nze nga mpulira nti, “ Mmwe muyiteeyite mu kibuga nga mumuvaako emabega, mutte, nga temubaako yenna gwe mukwatirwa kisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abalala n'abagamba, nga nze mpulira, nti: “Mmwe, muyiteeyite mu kibuga nga mumuvaako emabega, mutte. Temusonyiwa n'omu. Temubaako gwe mukwatirwa kisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abalala n'abagamba nze nga mpulira nti Mmwe muyite mu kibuga nga mumuvaako ennyuma mufumite: eriiso lyammwe lireme okusonyiwa so temubanga na kisa: