Ezekiel 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutte abasajja n'abavubuka, embeerera, abakazi n'abaana; naye temukwata ku yenna gwe munaalabako akabonero. Mutandikire awali ekitukuvu kyange.” Ne basookera ku basajja abakadde abaali mu maaso g'Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutte abasajja abakadde, abavubuka n’abawala, n’abakyala n’abaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.” Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutte, abakadde, n'abalenzi n'abawala, n'abaana abato n'abakazi: naye temusemberera muntu yenna aliko akabonero. Era musookere ku watukuvu wange.” Awo ne basookera ku bakadde abaali mu maaso g'ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutte abakadde, n'abalenzi n'abawala, n'abaana abato, n'abakazi, naye buli aliko akabonero temumusemberera. Era mutandikire mu Kifo kyange Ekitukuvu.” Awo ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso g'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
muttire ddala omukadde n'omulenzi n'omuwala n'abaana abato n'abakazi: naye temusembereranga muntu yenna aliko akabonero era musookere ku watukuvu wange. Awo ne basookera ku bakadde abaali mu maaso g'ennyumba