Ezekiel 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Ekiggwa mukijaajaamye, empya zaakyo muzijjuze abattiddwa. Mufulume.” Ne bafuluma ne bagenda nga batta wonna mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Eyeekaalu mugyonoone, mujjuze empya abattibwa, mugende!” Ne bafuluma ne bagenda nga batta mu kibuga kyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Ennyumba mugyonoone, mujjuze empya emirambo gy'abattiddwa: kale mugende.” Awo ne bafuluma ne bagenda batta abantu mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'abagamba nti: “Essinzizo mulyonoone mujjuze empya zaalyo emirambo gy'abattiddwa. Kale mugende.” Awo ne bagenda, ne batta abantu mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Ennyumba mugyonoone, mujjuze empya abattibwa: mufulume. Awo ne bafuluma ne bafumitira mu kibuga.