Ezekiel 9:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali batta, nze nga nsigadde nzekka, ne ngwa wansi ku maaso gange ku ttaka nga bwe ndeekaana nti: “Yii! ayi Mukama Katonda, ogenda kuzikiriza bonna abaasigalawo mu Yisirayeli ng'omalira obuswandi bwo ku Yeruzaalemu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali nga batta ne bandeka awo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olizikiriza ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo kyonna mu busungu bw’ofuse ku Yerusaalemi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, bwe baali nga batta nange nga nsigaddewo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! onoozikiriza Isiraeri yenna afisseewo, ng'ofukira ddala ekiruyi kyo ku Yerusaalemi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, bwe baali nga batta, era nga nze nsigadde awo nzekka, ne nvuunama nga nneevuunise ku ttaka, ne nkuba ekiwoobe, ne ŋŋamba nti: “Woowe, ayi Mukama Afugabyonna! Olw'obusungu obungi bw'olina ku Yerusaalemu, onotta Abayisirayeli bonna abasigaddewo, obamalewo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baali nga bafumita nange nga nsigaddewo, ne nvuunama amaaso gange ne nkaaba ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! onoozikiriza Isiraeri yenna afisseewo, ng'ofukira ddala ekiruyi kye ku Yerusaalemi?