Ezra 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina. Byonna Sesubazzari n'abitwala wamu n'abo abaali bambuka nga bava mu buwaŋŋanguse, bwe baali bava e Babiloni nga baddayo e Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina (5,400). Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Essowaani zonna eza zaabu n'eza ffeeza zaali enkumi ttaano mu bina (5,400). Ebyo byonna Sesubazzali yabiggyayo n'abireeta, abanyage bwe baggibwa e Babbulooni ne baleetebwa e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zonna awamu essowaani eza zaabu n'eza ffeeza zaali enkumi ttaano mu bina. Ebintu ebyo byonna Sesubazzari yagenda nabyo, ye n'abawaŋŋanguse abalala nga bava e Babilooni okudda e Abasiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina. Ebyo byonna Sesubazzali yabiggyayo n'abireeta, abanyage bwe baggibwa e Babulooni ne baleetebwa e Yerusaalemi.