Ezra 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kino Kuuro kabaka wa Buperusi ky'agamba: ‘Omukama Katonda w'eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw'omu nsi; andagidde okumuzimbira ekiggwa mu Yeruzaalemu eky'omu Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Kuulo kabaka w’e Buperusi nti, “ ‘Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti, Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kuuro Kabaka wa Perusiya agamba nti: Mukama Katonda w'eggulu, ampadde obwakabaka bwonna obw'omu nsi, era ankuutidde okumuzimbira Essinzizo mu Abasiriya ekiri mu Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda.