Ezra 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna ow'omu ggwanga lye ali mu mmwe, Omukama Katonda we abeere naye; oyo ayambuke mu Yeruzaalemu mu Yuda, azimbe ekiggwa ky'Omukama Katonda wa Yisirayeli, Katonda ali mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda abeere naye, era ayambuke e Yerusaalemi ekiri mu Yuda, azimbe ennyumba ya Mukama Katonda wa Isiraeri, ye Katonda ali mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda abeere nammwe mwenna abantu be. Mujja kugenda e Abasiriya ekiri mu Buyudaaya, muddemu okuzimba Essinzizo lya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, Katonda abeera mu Abasiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda we abeere naye, ayambuke mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda, azimbe ennyumba ya Mukama Katonda wa Isiraeri, (ye Katonda,) ali mu Yerusaalemi.