Ezra 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna eyasigalawo, eyo yonna gy'ali, ayambibwe abantu b'omu kifo gy'ali, nga bamuwa ffeeza, zaabu, ebintu, amagana ne bye banaaba batonye kyeyagalire olw'Ekiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Na buli Muyisirayiri eyasigalawo gy’ali, abantu abo baabeeramu, banaamuwa ffeeza ne zaabu, n’ebintu n’ebisolo ebirundibwa, obutasaako ebiweebwayo bye bawaayo ku bwabwe ebya yeekaalu ya Katonda eri mu Yerusaalemi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli akyasigaddewo mu kifo kyonna mw'abeera nga mugenyi, abasajja ab'omu kifo kye bamuyambe, nga bamuwa ffeeza ne zaabu n'ebintu, n'ebisolo, obutassaako ekyo kye bawaayo ku bwabwe eky'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era buli Muyudaaya ali mu buwaŋŋanguse ng'ayagala okuyambibwa addeyo, abantu b'abeeramu bamuyambe, nga bamuwa ffeeza ne zaabu n'ebintu ebirala ebikalu, n'ebisolo, nga kw'otadde n'ebiweebwayo, eby'okuwaayo mu Ssinzizo lya Katonda eriri mu Abasiriya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli asigadde mu kifo kyonna mw'abeera nga mugenyi, abasajja ab'omu kifo kye bamubeere ne ffeeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo, obutassaako ekyo kye bawaayo ku bwabwe eky'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi.