Ezra 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe mu Yuda ne Benyamiini, bakabona n'Abaleevi, na buli yenna Katonda gwe yasindika mu mutima, baasitukiramu ne bayambuka, bazimbe Ekiggwa ky'Omukama mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakulu b’ennyumba za Yuda ne Benyamini, ne bakabona, n’Abaleevi, na buli muntu Katonda gwe yakubiriza, ne beeteekateeka okwambuka okugenda okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama eri mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakulu b'ennyumba mu bika, ekya Yuda n'ekya Benyamini, ne bakabona n'Abaleevi, bonna Katonda be yakubiriza omwoyo gwabwe okwambuka okuzimba ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakulu b'ennyumba mu bika ekya Yuda n'ekya Benyamiini, ne bakabona, n'Abaleevi, na buli omu Katonda gwe yakubiriza, ne basituka okugenda e Abasiriya, baddemu okuzimba Essinzizo lya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Yuda ne Benyamini ne bagolokoka, ne bakabona n'Abaleevi, bonna Katonda be yakubiriza omwoyo gwabwe okwambuka okuzimba ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi.