Ezra 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'oku miriraano gyabwe bonna ne babadduukirira n'ebyokukozesa ebya ffeeza, ebya zaabu, ebintu ebirala, amagana, n'ebirabo ebirala eby'omuwendo nga tobaze bye baatonanga kyeyagalire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baliraanwa baabwe bonna ne babawa ebintu ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu ebirala n’ebisolo ebirundibwa, n’ebirabo eby’omuwendo omungi, okwo nga kwe kuli ebiweebwayo bye baawaayo nga beeyagalidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abo bonna ababeetolodde ne banyweza emikono gyabwe n'ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu n'ebisolo, n'ebintu eby'omuwendo omungi obutassaako ebyo byonna bye bawaayo ku bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baliraanwa baabwe ne babayamba nga babawa ebintu ebya ffeeza, ne zaabu, n'ebintu ebirala, n'ebisolo, n'ebirabo eby'omuwendo ennyo, nga kw'otadde n'ebiweebwayo eby'okuwaayo mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abo bonna ababeetoolodde ne banyweza emikono gyabwe n'ebintu ebya ffeeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo n'ebintu eby'omuwendo omungi obutassaako ebyo byonna bye baawaayo ku bwabwe.