Ezra 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuuro kabaka wa Buperusi yatuma Mituredati omuwanika n'abiggyayo, n'abibalira Sesubazzari omufuzi wa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuulo kabaka w’e Buperusi n’abikwasa Misuledasi omuwanika, eyabikwasa Sesubazzali omulangira wa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuulo kabaka w'e Buperusi n'abifulumya n'abikwasa Misuledasi omuwanika, n'abibalira Sesubazzali omukulu wa Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kuuro Kabaka wa Perusiya n'abikwasa Mitiredati omuwanika, eyabibalira Sesubazzari omufuzi wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebyo Kuulo kabaka w'e Buperusi n'abifulumya mu mukono gwa Misuledasi omuwanika, n'abibalira Sesubazzali omukulu wa Yuda.