Ezra 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezira bwe yali yeegayirira, nga yeetonda eno bw'akaaba, nga yeeyaze wansi mu maaso g'Ekiggwa kya Katonda, ekibiina kinene eky'abasajja, abakazi n'abaana Abayisirayeli ne kikuŋŋaanira w'ali; nabo ne bakaaba nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ezera bwe yali ng’asaba, ng’ayatula ebibi mu lwatu, ng’akaaba, era ng’avunnamye mu maaso g’ennyumba ya Katonda, ekibiina ekinene eky’Abayisirayiri, abasajja, n’abakyala, n’abaana ne bakuŋŋaana gy’ali, nabo nga bakaaba nnyo nnyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Ezera bwe yali ng'asaba era ng'ayatula, ng'akaaba amaziga era ng'avuunamye mu maaso g'ennyumba ya Katonda, ne wakuŋŋaanira waali okuva mu Isiraeri ekibiina ekinene ennyo eky'abasajja n'abakazi n'abaana abato, kubanga abantu baakaaba nnyo nnyini amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ezera bwe yali ng'avuunamye mu maaso g'Essinzizo, ng'asinza, ng'ayatula ebibi ebyo era ng'akaaba, Abayisirayeli bangi nnyo, omwali abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne bakuŋŋaanira w'ali, nga bakaaba nnyo amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Ezera bwe yali ng'asaba ng'ayatula ng'akaaba amaziga ng'avuunamira mu maaso g'ennyumba ya Katonda, ne wakuŋŋaanira gy'ali okuva mu Isiraeri ekibiina ekinene ennyo eky'abasajja n'abakazi n'abaana abato: kubanga abantu baakaaba nnyo nnyini amaziga.