Ezra 10:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno muwe ettendo Omukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ky'ayagala. Mweyawule ku bantu b'ensi eno ne ku bakazi bammwe abagwira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano mwatule ebibi byammwe eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo by’asiima. Mweyawule ku mawanga agabeetoolodde era muleke n’abakazi bannamawanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno mwatulire Mukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo by'asiima; mweyawule n'amawanga ag'omu nsi n'abakazi bannamawanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno kaakano mwatulire Mukama Katonda wa bajjajjammwe ebibi byammwe, era mukole ekyo ky'asiima. Mweyawule ku b'amawanga amalala abali mu nsi eno, ne ku bakazi bannamawanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno mwatule eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe mukole ebyo by'asiima: mweyawule n'amawanga ag'omu nsi n'abakazi bannaggwanga.