Ezra 10:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kubanga abantu bangi, n'ebiseera bya nkuba, tetusobola kusigala bweru. Ate guno si gwe mulimu ogw'olunaku olumu oba ebbiri, anti twasobya nnyo mu nsonga eno.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abantu bangi, era n’ekiseera kya nkuba, tetuyinza kuyimirira bweru. N’ensonga eyookubiri, omulimu guno teguyinza kukolebwa mu lunaku lumu oba mu nnaku bbiri, kubanga twonoonye nnyo nnyini mu kigambo ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu tuli bangi, era bye biro eby'enkuba ennyingi, so tetuyinza kuyimirira bweru, so guno omulimu si gwa lunaku lumu oba bbiri, kubanga twasobya nnyo mu kigambo ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abantu tuli bangi era n'enkuba etonnya nnyo. Tetuyinza kuyimirira bweru, era omulimu si gwa lunaku lumu oba bbiri, kubanga twasobya nnyo mu nsonga eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu tuli bangi, era, bye biro eby'enkuba ennyingi, so tetuyinza kuyimirira bweru, so guno mulimu gwa lunaku lumu oba bbiri: kubanga twasobya nnyo mu kigambo ekyo.