Ezra 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka abakulembeze baffe bakiikirire ekibiina. Olwo abantu okuva mu bibuga byaffe abaawasa abakazi abagwira, bajje mu kiseera ekiweereddwa, nga kujjirako abakadde n'abalamuzi aba buli kibuga, okutuusa obusungu bwa Katonda waffe obwesera olw'ekibi kino lwe bunaakyukira eri ne butuvaako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulu baffe beeyimirire olukuŋŋaana lwonna, na buli muntu awamu n’abakadde n’abalamuzi aba buli kibuga mu bibuga byaffe eyawasa omukazi omunnaggwanga, ajje mu kiseera ekiragaane alongoose ensonga eyo, okutuusa obusungu bwa Katonda waffe lwe bulituvaako olw’ekigambo ekyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale abakulu baffe beeyimirire ekibiina kyonna, n'abo bonna abali mu bibuga byaffe abaawasa abakazi bannamawanga bajjire mu biseera ebiteekebwawo, era wamu nabo abakadde ba buli kibuga, n'abalamuzi baakyo, okutuusa Katonda waffe lw'alikyusa ekiruyi kye ekikambwe ne kituvaako, era okutuusa ekigambo kino lwe kinaamalibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abakulembeze baffe, beeyimirire ekibiina kyonna. Awo ab'omu bibuga byaffe bonna abaawasa abakazi ab'amawanga amalala, bajje mu kiseera ekiteekeddwawo, nga bali wamu n'abakulembeze era n'abalamuzi aba buli kibuga, Katonda waffe alyoke alekere awo okutusunguwalira ennyo olw'ensonga eyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale abakulu baffe balonderwe ekibiina kyonna, n'abo bonna abali mu bibuga byaffe abaawasizza abakazi bannaggwanga bajjire mu biseera ebiteekebwawo, era wamu nabo abakadde ba buli kibuga, n'abalamuzi baakyo, okutuusa Katonda waffe lw'alikyusa ekiruyi kye ekikambwe ne kituvaako, okutuusa ekigambo kino lwe kinaamalibwa.