Ezra 10:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonatani mutabani wa Asaweli ne Yakuzeeya mutabani wa Tikuva, be bokka abaakiwakanya, mpozzi ne Mesullamu, Sabbetayi n'Abaleevi abaabawagira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yozeya mutabani wa Tikuva, nga bawagirwa Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi be bokka abawakanya ekiteeso ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yazeya mutabani wa Tikuva bokka ne bayimirira okugaana ekigambo kino, era Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi ne babawagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yonataani mutabani wa Asayeeli, ne Yazeya mutabani wa Tikuva, be bokka abaagaana ekigambo ekyo, era Mesullamu ne Sabbetaayi Omuleevi ne babawagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yazeya mutabani wa Tikuva bokka ne bayimirira okugaana ekigambo kino: Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi ne babayamba.